
Katikkiro (Prime Minister) of the Kingdom of Buganda (@BugandaKingdom_). Personal posts end with CPM.
Kampala
Joined June 2013
- Tweets13.5K
- Following244
- Followers29K
- Likes3.5K
Njozaayoza ekitongole kya Buganda Land Board okuwangula empaka z’emizannyo gy’ebitongole by’Obwakabaka egy’Omwaka guno.
Kikilu abawereza mu bitongole by’Obwakabaka okukulembeza okumanyagana n’okuzimba enkolagana ennungi wakati waabwe, kibayambe okutegeera embeera z’abo be bakola nabo n’okussa ekitiibwa mu buli omu.
Era mbasabye okubeera abasanyufu ku mirimu gyabwe n’okwewala okwekapa n’okweraliikirira ennyo, naddala nga bakyali bavubuka.
Ntuuse mu Lubiri e Mengo okuggalawo emizannyo gy’ebitongole bya Kabaka.
Emizannyo gino giyamba abakozi ba Kabaka okwemanya, n’okukwatagana.
Mesach Ssemakula, batabani be, ne Manager Kayemba Solo bankyaliddeko.
Ssemakula ansaasidde enkuba eyatukuba ku kivvulu kye ku Kingdom Kampala.
Mugambye nti Katonda y'atonnyesa enkuba, era emikolo mingi enkuba egitaataganya.
Nneebaza Mesach Ssemakula olw'okussa ekitiibwa mu mulimu gwe, ekimuyambye okutumbula ekitone kye.
Nneetabye ku mbaga Mutabani wa Jjajja ffe Namugera Kakeeto omukulu w’ekika ky’Omutima Omuyanja Fred Mayiga kwakubidde ebirayiro ne mwana munne Mulungi Esther e Namirembe.
Mbakuutidde ku bukulu bw’okusalawo mu budde. Omuntu atasalawo ne bwegiba mirimu egya bulijjo, tegitambula bulungi. Mu ffe abakulembeze omuntu bwaba tasalawo, muba mu vvulugu ataggwa.
Mayiga mukuutidde okuba omuvumu kubanga abakyala tebaagala musajja mutitiizi.
I met the leadership of Joint Medical Store and remembered a young doctor I once saw in tears at Mulago Hospital because there were no gloves to save accident casualties.
Health workers need supplies to save lives.
We commend JMS for easing the pressure on public facilities by making sure medical supplies reach private health facilities.
Ntuuse ku Lutikko e Namirembe okwetaba ku mbaga ya Fred ne Esther Mayiga.
Bano baana ba jjajja Namugeera Kakeeto omukulu w'ekika ky'omutima Omuyanja.
Nsisinkanye abakulira ekitongole kya Joint Medical Stores (JMS). Mu 1979, Keleziya ne Kanisa zaatandikawo enkolagana okutuusa ebyetaagisa mu bujjanjabi mu malwaliro nga bayita mu kitongole JMS. Amalwaliro ssi bizimbe, amalwaliro bwe bujjanjabi, abasawo, eddagala n’ebyuma ebikozesebwa mu bujjanjabi.
Mu Bwakabaka tusoosowaza eby’obulamu kubanga Kabaka yatugamba nti bwe tutaba balamu, bino ebirala byonna byetwogerako tuba tumala budde.
Obwakabaka buli mu kuzimba malwaliro, n’olwekyo bwetunaakolagana ne JMS tujja kuba n’obusobozi obutuusa eby’obulamu ku bantu baffe.
Leero nnambudde omulimu gw'okuzimba Ekisaawe ki Ssekabaka Daudi Chwa II mu kibuga Masaka, e Buddu.
Ekisaawe kino twakituumye Ssekabaka Daudi Chwa II, kubanga ye Pulezidenti wa FUFA eyasooka ate yali ayagala nnyo eby’emizannyo.
Eby'emizannyo okukula byetaaga ebisaawe, eby'omupiira n'eby'okuddukiramu. Mu Bwakabaka twagala okutandika emizannyo emirala ng'emisinde, naye tetuyinza kugamba bantu kudduka nga tebalina we baddukira.
Eyo y'ensonga lwaki enteekateeka eno nkulu nnyo. Nsanyuse okulaba ng'omulimu gutambula bulungi.
Tumalirizza ttabamiruka w’Abasajja mu Buganda ayindidde mu ssaza Buddu.
Ttabamiruka ono atambulidde ku mulamwa nti “Abasajja basobozese bakyala baabwe okwekulaakulanya mu Byenfuna, ku lw’Obulungi Bw'amaka".
Abasajja abamu basanga obuzibu okuwagira bakyala baabwe okukola. Naye Omusajja alina ekifo kye nga munywevu taba na kukaluubirirwa kwonna okusobozesa mukyala we okwekulaakulanya.
Naabo abagamba nti Omukazi bwagaggawala afuuka ekizibu, omukazi omwavu nga naye muzibu!
Lwaki abantu batya okukola ekiraamo?!
Ensangi zino, abantu bangi bwe bafa tulaba entalo z'okukaayanira obusika n'okulwanira ebintu, ne kivaamu n'enjawukana mu booluganda, embeera eno esaana okukoma.
Leero mu ttabamiruka w'Abaami, nkubirizza Abaami obutatya okukola biraamo kubanga kino kivaamu entuuyo zaabwe okufa, tulaba bannamwandu bangi nga bagobebwa mu mayumba, ng'abooluganda balwanira ebintu, abaana balekebwa tebalina wa kusula kyokka nga bakitaabwe balese amayumba n'ebirala.
Ekiraamo tekirina kutunuulira nnyo ngabana ya bintu, wabula essira libeere ku ngeri ebintu omugenzi by'alese bwe bikuumibwamu okusobola okugasa baabiwadde! – at Kampala, Uganda
Ntuuse mirembe ku mbuga y'Essaza Buddu okwetaba ku mukolo gwa ttabamiruka w'Abaami mu Buganda 2026.
Abaami bakulu nnyo mu nkulaakulana y'amaka wamu n'okukula kw'eggwanga naddala kasita batuukiriza obuvunaanyizibwa baabwe! – at Kampala, Uganda
Ndi Masaka mu Buddu, leero tulina omukolo gw'olunaku lw'Abaami mu Buganda.
Nasuze ku Brovad Hotel mu kibuga Masaka, ekifo kino kikuumye omutindo era nneebaza omutandisi wakyo Hajjati Sarah Kiyimba, olw'okulabirira obulungi omulimu gwe ate n'abakozi n'abatendeka bulungi. #SitulaOmutindo – at Kampala, Uganda
Nga nzija wano, Ssaabasajja Kabaka angambye nti musanyufu nnyo olwa Kaweefube w'okutaasa obulamu, CBS gw'ewomyemu omutwe ng'eyita mu Kijjulo kya Kaliisoliiso.
Obwakabaka bwenyigidde mu bintu bingi. Mu 2017, obwanga twabwolekeza okutaasa abagwa ku bubenje ku luguudo lw'e Masaka. Twakawaayo ensimbi ezisoba mu kawumbi kalamba n'obukadde 600.
Mu Uganda tulina ekizibu. Twagala nnyo okuwaayo ssente z'embaga ne ssente z'amabugo. Muba ne bannammwe nga balwadde, teri muntu asonda ssente, bwe mufiirwa amabugo ne gajja.
Naye njagala tukyuse endaba y'ebintu. Twemanyiize okwenyigira mu nteekateeka ezitaasa obulamu, ezireeta enkulaakulana.
Ntuuse ku ddwaliro ly’E Nkozi okukwasa abaliddukanya ensimbi ezaava mu Kaliisoliiso dinner.
Ensimbi zino zeziyambako okuzimba ekifo ewatuukira abayi n’abagudde ku bubenje.
Olwaleero Nsisinkanye abantu ba Buganda abavudde mu masaza ag’enjawulo abaleese Oluwalo.
Nneebaza abantu ba Buganda abaleese oluwalo.
Mwana mugimu ava ku ngozi. Abazadde abaana bawummudde, mubayigirize emirimu.
Omuganda agamba nti omwana bwotamukaabya mu buto, akukaabya mu bukadde.
Okukaabya omwana mu buto, kwe kumutuma kyatayagala kukola naye nga kimugasa.
Nkubiriza abazadde obutakola baana kyejo mu luwummula.
Nsanyuse nnyo okulaba abaana bamasomero nga bazze.
Omuganda agamba nti mwana mugimu ava Ku ngozi.
Abaana tubalage ffe byetulaba, tubaagaze ffe byetwagala, tubayigirize ffe byetumanyi.
A quote to Employers & Managers!
“Employees should not have to work under constant supervision. Trust them with responsibility, give them room to deliver, and allow them to earn that trust. When an employer first demonstrates trust, employees develop a sense of ownership and accountability. They should feel that failing is not just disappointing their employer, but betraying the confidence placed in them.”
Trust builds ownership; ownership inspires accountability. #CPMQuotes – at Kampala, Uganda
































































