Munyagwa olusiniya lwewandekera lukalu lummenya -Bigirwa
Ssaabawandiisi wa Common Man's Party Bigirwa Moses agamba nti Pulezidenti w'Ekibiina Mubarak Munyagwa Sserunga tadda nga ku kitebe ky'Ekibiina oluvannyuma lwokuwangulwa mu kalulu ka 2026 nga agamba nti kizingamizza emirimu
gy'Ekibiina.
Bigirwa agamba nti Munyagwa bweyagenda mu luwummula teyadda nga akoma kumulaba nakumuwulira ku mikutu gya TV ne leediyo gyakyaala nga nebwamukubira essimu tazikwata ne WhatsApp taziddamu.
#ffemmwemmweffe
Omusuubuzi w'omu Kampala Susan Kushaba asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira kubigambibwa nti yalebula Baminisita ba Kampala okuli Hajati Minsa Kabanda ne Kabuye Kyofatogabye ngayita ku mukutu gwe ogwa Tiktok.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
Omuvuzi wa Takisi Asiimwe Isa nga mutuuze w'e Bulenga mu Disitulikiti y'e Wakiso asimbiddwa mu Kkooti y'Amaggye navunaanibwa omusango gwokusangibwa nga ayambadde ekyambalo ky'Amaggye ngate muntu wabulijjo.
Asiimwe omusango agukirizza mu maaso ga Bammemba 3 abakuluddwa
Brig. General Richard Tukacungura nga kati alindirira kibonerezo.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
Akola ng'omwogezi w'Eggye ly'Eggwanga erya UPDF Col. @ChrisOMagezi avuddeyo nategeeza Renegade UPDF Officer Peter Elwelu akwatiddwa abebyokwerinda akawungeezi kaleero mu Kibuga Soroti. Magezi agamba nti Elweru abadde yadduka ngabadde anoonyezebwa kubigambibwa nti yalina enteeka
ezitaataganya emirembe mu bitundu by'e Teso.
Kigabibwa nti gyebuvuddeko abebyokwerinda bamusanga n'emmundu 15, ebyambalo byamaggye ne pick up 2. Agambye nti waakusimbibwa mu kkooti abitebye.
#ffemmwemmweffe
Omubiri gwa Munnakatemba Yokaana Mbuuse aka Kapere Lufootose olwaleero gutwaliddwa ku kitebe kya @NUP_Ug ku Kavvule okumukungubagira.
Abakulembeze b'ekibiina nga bakulembeddwamu akola nga Pulezidenti w'Ekibiina @JNambeshe, LOP @JoelSsenyonyi n'omumyuuka
wa Pulezidenti owamasekkati Hon. Muhammad Muwanga Kivumbi babaddewo.
#ffemmwemmweffe
Omuyimbi Mansoor Ssemanda aka @kingsaha_256 yeyamye okumaliriza ennyumba ya Kapere Lufootose gyabadde azimba e Mukono wamu nokuweerera Abaana be.
#ffemmwemmweffe
Hajji Abdul Kiyimba Munnakibiina ki @NRMOnline nolwaleero mu Kkooti Enkulu e Wakiso atunudde ebikalu omulamuzi bwamusaby3 okunnyonyola omuwendo gwobululu ogutafaanagana ku DR Forms ze.
Omulamuzi George Okello bwamusabye annyonyole omuwendo gwobululu ogwakyuusibwa ku DR forms ze,
Kiyimba abyesamudde nategeeza nti siyeyabikyuusa nti wabula bagenda okuzimuwa nga babikyuusizza dda.
#ffemmwemmweffe
Enkya yaleero Abakozi ba Luboggola Simba, @BetikaUg ne @SafeBoda bakedde kwenyigira mu bulungibwansi ku luguudo lwa Kira Road.
#ffemmwemmweffe
#BetikaNaCommunity
#SafeBoda
#BETIKA
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Wakiso George Okello awaliriziddwq okuyimiriza Kkooti ku musango gwa Busiro East oluvannyuma lwokuzuula ebirumira ku DR Forms ezireereddwa Munnakibiina ki @NRMOnline Hajji Abdul Kiyimba nga ezimu zisangiddwa nga ba aggenti abaziteekako emikono ate
baabo beyali avuganya nabo.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
Ssebo Omulamuzi ebigeezo bya S.6 nabikola mu lunaku lumu - Hajji Kiyimba (NRM)
Wabaddewo katemba atali musasulire mu Kkooti Enkule e Wakiso Munnakibiina ki @NRMOnline Hajji Abdul Kiyimba eyatwalayo omusango ngawakanya obuwanguzi bwa Magoola Emmanuel Matovu ku kifo ky'Omubaka wa
Busiro East, Kiyimba bwasabye Omulamuzi George Okello awe obujulizi bwe mu Luganda kuba tasobola kwogera Lungereza yadde nga yatuula Siniya eyomukaaga.
Kiyimba era ayongedde okwetema engalike bwategeezezza nti ebigezo bya S.6 byonna yabituula mu lunaku lumu.
#ffemmwemmweffe
Kano kalango:
1 Day to go! Kampala, get your gloves ready. We are rolling up our sleeves alongside @KCCAUG, SafeBoda, Ntugasaze and Radio Simba as we come together to clean up Bukoto.
*When*: Saturday 31st October 2026. Where: Kira Road Police Arena - Bukoto Market
Time:7AM-10am





















