Ministry of Local Government_Buganda (@LocalGovt_Bug) header
Ministry of Local Government_Buganda (@LocalGovt_Bug) profile picture

Official page for the Ministry of Local Government @BugandaOfficial

Bulange, Mmengo
Joined April 2023
Emizannyo gy'Eggombolola mu Masaza ga Buganda zigenda kutongozebwa ku Lwomukaaga luno mu Ssaza Buweekula mu kisaawe e Kasana - Mubende. Omwaka guno essira ligenda kuteekebwa ku mizannyo esatu; Omupiira ogw'ebigere, Okubaka, n'Omweso. #GgombololaCup2026
2
69
Leero tukuza olunaku lwa Gavumenti ez'Ebitundu mu Buganda nga tujjukira n'emyaka 63 nga Buganda eddiziddwa obwetwaze. Katikkiro @Cpmayiga atongozza mayiro ya Bulungibwansi mu ggombolola ya Musaale Busukuma bw'atuuse okwetaba ku mukolo gw'okujaguza olunaku luno.
98
Empaka za Kayima Cup zitongozebwa leero. Eggombolola ez’enjawulo za kubbinkana mu mupiira gw'ebigere, okubaka, omweso, amaato, emirala Omwami w'Essaza, Owek. Sarah Nannono Kaweesi akubirizza Abaami b'Egombolola okukunga abantu beeyiwe mu bungi ku bisaawe. #GgombololaCompetitions
9
198
Omwami w'Essaza Ssingo Mukwenda Owek. Deo Kagimu n'Abamyuka be batuuziddwa mu butongole ku mukolo ogubadde ku mbuga y'Essaza Ssingo. Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule y'akulembeddemu okutuuza Omwami ono. #BugandaKuNtikko
2
31
606
Katikkiro @cpmayiga atongozza Mailo ya Bulungibwansi eddaabiriziddwa mu ggombolola ya Mutuba V Wakisi mu Ssaza Kyaggwe. #Bulungibwansi2024
7
72
1,506
Okukuza olunaku lwa Gavumenti ez'Ebitundu mu Buganda, omukolo guli ku mbuga y'Eggombolola Nnyenga mu Ssaza Kyaggwe. Ku lunaku luno era tulina n'entikko ya ssabbiiti ya Bulungibwansi. Katikkiro @cpmayiga atuuse mu kifo ewategekeddwa omukolo guno #Bulungibwansi2024
2
7
43
975
Enkya ya leero, Omumyuka Owookubiri owa Ssekiboobo Omw. Katende Fred ayanirizza ab'olukiiko oluteekateeka empaka z'omupiira gw'Amasaza abakulembeddwamu Ssentebe waabwe Omw. Sulaiman Ssejjengo nga bano bali mu kusisinkana abakulembeze ba ttiimu 8 ezaava mu bibinja #MasazaCup2024
1
4
38
1,705
Obwakabaka bwafulumizza ekitabo #BugandaEggumidde - Ekirooto Kya Kabaka Kintu. Kino mwosanga ensengeka y'Amasaza, Eggombolola, Emiruka n'Ebyalo, kirimu n'ennyinnyonnyola y'amanya g'ebitundu ag'Ennono. Kitundibwa 50,000/= era kisangibwa ku mbuga z'Amasaza ne ku Bulange.
10
41
1,617
Abantu ba Kabaka okuva mu Ggombolola 6 okuva e Buweekula n'Eggombolola okuva mu Kyaddondo bakiise Embuga ne baleeta oluwalo lwa nsimbi ezisobye mu bukadde 43. Ku lwa Katikkiro @cpmayiga, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa Omuwanika wa Buganda yaabatikudde oluwalo luno #Luwalo2024
3
12
306